Luganda

Permanent URI for this collection

Browse

Recent Submissions

Now showing 1 - 4 of 4
  • Item
    Abavubuka b’e South Afirika abalina HIV ne CD4 entono bali mu bulabe obw’amaanyi obw’okufuna kookolo
    (2023-10-02) ST Communications
    Twateekamu abantu ab’emyaka 15 ku 24 okuva mu South African HIV Cancer Match study, nga kino kibinja ekinene ekyava mu nkolagana wakati w’ebipimo by’amagezeserezo agakwata ku HIVokuva mu National Health Laboratory Services n’ebiwandiiko okuva mu National Cancer Registry. Twabala emiwendo gy’abafuna ebika bya kookolo ebisinga okulabika. Twekenneenya obukwatane wakati wa kookolo ono n’ekikula, emyaka, omwaka, n’omuwendo gw’obutaffaali bwa CD4 nga tukozesa enkola za Cox n’omuwendo gw’obulabe (aHR).
  • Item
    Abanoonyereza bagamba nti akawuka ka COVID-19 kasobola okukyukakyuka mpolampola, ekyanguya omulimu gw’okukola eddagala erikagema.
    (2023-10-02) ST Communications
    Nawookeera wa COVID-19 agenze mu maaso okuva lwe yabalukawo ku nkomerero y’Ogwekkuminoogumu gwa 2019 mu Wuhan, China. Okutegeera n’okulondoola enkyukakyuka mu ndagabutonde ez’akawuka, enkalira zaako mu bwebungulule n’obutebenkevu bwako bya mugaso nnyo mu kutangira ensaasaana y’endwadde naddala mu kukola eddagala ttaba erigema erikola ku bika byonna ebisaasaana. Mu ngeri eno, twekaliriza endagabutonde 30,983 eza SARS-CoV-2 enzijuvu okuva mu mawanga 79 agasangibwa mu ssemazinga mukaaga era ezaakuŋŋaanyizibwa okuva nga 24 Ogwekkumineebiri 2019, okutuusa nga 13 Ogwokutaano 2020, okusinziira ku tterekero lya GISAID. Okwekaliriza kwaffe kwayoleka okubaawo kw’ebifo eby’enjawulo 3206, nga birina ensaasaana y’ebika by’endagabutonde ez’enjawulo efaanagana mu bitundu eby’enjawulo. Mu ngeri ey’enjawulo, emirundi gy’obweyolesi egya wansi mu nkyukakyuka gizuuliddwa; enkyukakyuka 169 (5.27%) gyokka gye gyalina obweyolesi obusukka ekitundu 1% mu ndagabutonde. Newankubadde nga kiri kityo, enkyukakyuka kkumi na nnya ezitafaanagana (>10%) zizuuliddwa mu bifo eby’enjawulo mu ndagabutonde z’obuwuka; munaana mu ORF1ab polyprotein (mu nsp2, nsp3, transmembrane domain, RdRp, helicase, exonuclease, ne endoribonuclease), ssatu mu nucleocapsid protein, n’enkyukakyuka emu emu mu puloteyini zino essatu: Spike, ORF3a, ne ORF8. Ekyo nga kiri awo, enkyukakyuka 36 ezitafaanagana zaazuulibwa mu kitundu kya puloteyini enfunyi ey’ekika kya spike ekiyambako akawuka okuyingira omubiri gw’omuntu (RBD) n’obweyolesi obwa wansi (<1%) mu ndagabutonde zonna, nga muno mwalimu nnya zokka ezaalina obusobozi bw’okuyambako puloteyini ya spike eya SARS-CoV-2 okukwanagana n’ekifunyi ekya ACE2. Bino ebizuuliddwa gattako n’obwawuko mu ndagabutonde ya SARS-CoV-2 biyinza okwoleka nti obutafaanagana na kawuka akaleeta ssennyiga oba akaleeta mukeenenya, aka SARS-CoV-2 kalina enkyukakyuka ya wansi ekifuula omulimu gw’okukola eddagala erigema erituukiridde okuba nga gusobokera ddala.
  • Item
    Bannayuganda abalina HIV ne puleesa tebafuna kufiibwako kwe beetaaga
    (2023-10-02) ST Communications
    Abantu abalina HIV (PLHIV) abali ku ddagala lya mukeenenya balina akatyabaga ka waggulu okufuna obulwadde bw’omutima (CVD). Okutobeka obujjanjabi eri obulwadde bw’entunnunsi (HTN), akatyabaga k’okufuna CVD, mu bulwaliro bwa HIV kyetaagisa mu Uganda. Okunoonyereza kwaffe okwasooka kwalaga emiwaatwa egiwera mu kuteeka mu nkola okutobeka obujjanjabi eri HTN ku kipande ekiriko ebigobererwa mu kujjanjaba HIV. Mu kunoonyereza kuno, twagenderera okuzuula emiziziko n’ebiyambako okutobeka okukebera n’okujjanjaba HTN mu bulwaliro bwa HIV mu Buvanjuba bwa Uganda.
  • Item
    Akakodyo k’okutangaaza ne X-ray kasobola okukozesebwa okulaga ebitundu by’ekiwuka ebitinniinya.
    (2023-10-07) ST Communications; Philipp, L .; Marion, J.; Du Plessis, A.; Tshibalanganda, M.; Terblanche, J.
    Okupima ebitundu ebiwuka mwe bissiza n’engeri gye byawuka kikyasoomooza olw’obutinniinya bwabyo. Wano tupima obugazi bw’omuyitiro gw’ekiwuka nga tukozesa X-ray micro-tomography (µCT) okutangaaza (ku bunene bwa 15 µm) enkulungabbi ennamu ensannyalaze okwetooloola obunene bwazo obw’enjawulo. Mu lupapula luno tuwa obubaka bwonna ku bugazi n’ebifaananyi bya 3D ebya sikaani 12, nga tuwa obubaka obupya ku buddiŋŋanyi bw’ebyo ebyekaliriziddwa n’enjawulo mu nkalira z’ekikula ky’omuyitiro ezeeyolekera mu bukodyo bw’okwawuzaamu ekifaananyi obw’enjawulo. Obubaka ku bugazi bulagiddwa wano kw’ossa ebitundu by’omuyitiro ebikutuddwamu nga biri mu bifaananyi bya 3D.