Abanoonyereza bagamba nti akawuka ka COVID-19 kasobola okukyukakyuka mpolampola, ekyanguya omulimu gw’okukola eddagala erikagema.

Loading...
Thumbnail Image

Date

2023-10-02

Journal Title

Journal ISSN

Volume Title

Publisher

Abstract

Nawookeera wa COVID-19 agenze mu maaso okuva lwe yabalukawo ku nkomerero y’Ogwekkuminoogumu gwa 2019 mu Wuhan, China. Okutegeera n’okulondoola enkyukakyuka mu ndagabutonde ez’akawuka, enkalira zaako mu bwebungulule n’obutebenkevu bwako bya mugaso nnyo mu kutangira ensaasaana y’endwadde naddala mu kukola eddagala ttaba erigema erikola ku bika byonna ebisaasaana. Mu ngeri eno, twekaliriza endagabutonde 30,983 eza SARS-CoV-2 enzijuvu okuva mu mawanga 79 agasangibwa mu ssemazinga mukaaga era ezaakuŋŋaanyizibwa okuva nga 24 Ogwekkumineebiri 2019, okutuusa nga 13 Ogwokutaano 2020, okusinziira ku tterekero lya GISAID. Okwekaliriza kwaffe kwayoleka okubaawo kw’ebifo eby’enjawulo 3206, nga birina ensaasaana y’ebika by’endagabutonde ez’enjawulo efaanagana mu bitundu eby’enjawulo. Mu ngeri ey’enjawulo, emirundi gy’obweyolesi egya wansi mu nkyukakyuka gizuuliddwa; enkyukakyuka 169 (5.27%) gyokka gye gyalina obweyolesi obusukka ekitundu 1% mu ndagabutonde. Newankubadde nga kiri kityo, enkyukakyuka kkumi na nnya ezitafaanagana (>10%) zizuuliddwa mu bifo eby’enjawulo mu ndagabutonde z’obuwuka; munaana mu ORF1ab polyprotein (mu nsp2, nsp3, transmembrane domain, RdRp, helicase, exonuclease, ne endoribonuclease), ssatu mu nucleocapsid protein, n’enkyukakyuka emu emu mu puloteyini zino essatu: Spike, ORF3a, ne ORF8. Ekyo nga kiri awo, enkyukakyuka 36 ezitafaanagana zaazuulibwa mu kitundu kya puloteyini enfunyi ey’ekika kya spike ekiyambako akawuka okuyingira omubiri gw’omuntu (RBD) n’obweyolesi obwa wansi (<1%) mu ndagabutonde zonna, nga muno mwalimu nnya zokka ezaalina obusobozi bw’okuyambako puloteyini ya spike eya SARS-CoV-2 okukwanagana n’ekifunyi ekya ACE2. Bino ebizuuliddwa gattako n’obwawuko mu ndagabutonde ya SARS-CoV-2 biyinza okwoleka nti obutafaanagana na kawuka akaleeta ssennyiga oba akaleeta mukeenenya, aka SARS-CoV-2 kalina enkyukakyuka ya wansi ekifuula omulimu gw’okukola eddagala erigema erituukiridde okuba nga gusobokera ddala.

Description

Luganda translation of DOI: 10.3390/pathogens9100829

Keywords

Citation